Eno ye Terefayina y'obwakabaka bwa Buganda ekuleetera ebisanyusa, Amawulire, Eby'abavubuka, eby'obuwangwa n' ennono saako n'ebyemizannyo | bbstv.ug/live

Joined December 2015
96,610 Photos and videos
Kiraabu ya Tottenham abanaayimirira mu kkuubo lyayo sizoni eggya mwenyweze... eno olwaleero ekakasizza nga bwemalirizza okusonjola abadde omuwuwuttanyi wa Newcastle United, Sandro Tonali ku bukadde bwa Pawundi za Bungereza 100. Tonali yegasse ku muzannyi Mateus Fernandes gwebaaguze okuva mu West Ham ku bukadde bwa pawundi 85. #Ekisaawe
2
914
Abadde omutendesi w'Essaza lye Kyaddondo, Nyanzi Bright Tadeo ebintu bimwokyezza n’asuulawo ttawulo. #Ekisaawe
1
1
245
Olukiiko lwa Buganda olutudde olwaleero nga 6 July 2026 okusoma n'okuyisa embalirira y'obwakabaka ey'omwaka gw'ebyensimbi 2026/27 luyisizza ebiteeso bina nga bwebirambikiddwa mu kiwandiiko kino. #EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026
3
6
1,620
#AGAAKAGWAWO | Abadde Sipiika wa Palamenti, @AnitahAmong olwaleero asuubirwa okuleetebwa ku kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi. Wekuumire ku BBS Terefayina okumanya byonna
3
6
20
1,325
Embalirira y'Obwakabaka eya 2026/2027 esomeddwa olwaleero ya buwumbi bina mu mwenda n'omusobyo (409,315,856,147/=) #EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026
1
20
1,965
#WorldCup2026 atuuse wanyumira..Naye abaffe ku bano ani anaawangula 'Golden boot' y'omulundi guno? #Ekisaawe
4
1
31
3,225
Bannansi e Tanzania emitima gibeewanise oluvannyuma lw’abavubuka okulangirira nga bwebagenda okwekalakaasa enkya singa munnabyabufuzi Tindu Lisu tayimbulwa. Bano bagamba ejjoogo lya Gavumenti Samia Suluhu lisusse nga bannansi batulugunyizibwa nga n’enfuga ey’amateeka bagivaako. Mu kaseera kano ab’ebyokwerinda bayiiriddwa ku nguudo ez’enjawulo okwang’anga embeera eyinza okutuukawo. Bino webijjidde nga Tanzania enteekateeka okujaguza olunaku ekibiina ki Tanganyika African National Union (TANU) lwekyatandika mu 1954 nekisobola okubafunira obwetwaze.#Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI
1
5
61
4,961
2/2
1
13
879
Abamu ku babaka ba Palamenti abakiikirira ebitundu bya Buganda abeetabye mu lutuula lw’okusoma embalirira y’Obwakabaka eya 2026 - 2027.#EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026 2/1
1
8
107
6,033
Ennyingiza n'ensaasanya esuubirwa mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja 2026/27. #EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026
1
3
5
1,904
Obwakabaka bwongedde okuwagira abavubuka mu by'emizannyo nga kino kiyambye okukuuma obumu, okuwa abantu emirimu n’okutaasa Abavubuka ku mize gyebandyenyigiddemu olw’ebbula bikolwa - Owek. @BobNsibirwa (Omuwanika wa Buganda) . #EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026
2
6
2,000
Omulangira David Kintu Wasajja ng'agoberera ebigenda mu maaso mu kusoma embalirira y'Obwakabaka eya 2026/27. #EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026
31
1,920
Minisita w’ebyokwerinda mu ggwanga lya Israel, Israel Katz awuniikirizza ensi bw’ategeezezza nti tebajja kusibamu kutirimbula mukulembeze wa Iran yenna nebwanabeera ani singa bakizuula nti alina enteekateeka yonna ezanyira ku kitiibwa kya Israel oba okusiinya ku ntegeka zonna ezigendereddwamu okugimalawo. Kinajjukirwa nti mu March w’omwaka guno nga Ayatollah yaakafa , Katz y’omu yavaayo naakakasa nti omuntu yenna anaamusikira ajja kuttibwa awatali kwebuuza ku muntu yenna. #Gambuuze #Ageesigika #BBSAt10
1
2
28
4,025
Omuwanika wa Buganda era omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. @BobNsibirwa yeyanzizza Ssaabasajja olw’okusiima n'alambula ettaka lye ery'enjawulo naddala erizuuliddwa nti waliwo abaagala okulibba. Owek. Nsibirwa agamba kino kiyambye nnyo okutangira okumogola ku ttaka ly’Obwakabaka. #EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026
1
2
23
2,174
Abantu ba Beene bongedde okuwagira emirimu gy’Embuga mu mbeera y’okutuukiriza Federo ey’ebikolwa nga bwetulindirira Federo ey’amateeka- Owek. @BobNsibirwa . #EmbaliriraYaBuganda2026 #BugandaBudget2026
1
11
1,750